Joshua 17:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bajja eri Eleyazari kabona ne Yoswa mutabani wa Nuunu n'eri abakulembeze, ne bagamba nti: “Omukama yalagira Musa okutuwa obusika mu bannyinaffe.” Yoswa n'abawa ekitundu ekyabwe mu baganda bakitaabwe ng'Omukama bwe yali alagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bano baagenda eri Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n’abakulu ne babagamba nti, “ Mukama yalagira Musa okutuwa omugabo nga baganda baffe.” Yoswa kyeyava abawa ettaka nga Mukama bwe yalagira. Yabawa omugabo mu baganda bakitaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagenda eri Eriyazaali kabona, ne Yoswa omwana wa Nuuni, n'abakulu abalala, ne babagamba nti, “Mukama yalagira Musa okutuwa obutaka mu baganda baffe.” Bw'atyo okusinziira ku kiragiro kya Mukama, n'abawa obutaka mu baganda bakitaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo ne bagenda eri Eliyazaari kabona n'eri Yoswa mutabani wa Nuuni n'eri abakulembeze, ne bagamba nti: “Mukama yalagira Musa okutuwa mu bannyinaffe ettaka okuba eryaffe.” Kyebaava baweebwa ettaka mu bannyinaabwe nga Mukama bwe yalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne basemberera Eriyazaali kabona, ne Yoswa omwana wa Nuni, n'abakulu, nga boogera nti Mukama yalagira Musa okutuwa obusika mu baganda baffe: kyeyava abawa, nga Mukama bwe yalagira, obusika mu baganda ba kitaabwe.