Joshua 17:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe batyo bawala ba Manasse ne bafuna obusika mu batabani be. Ensi ya Gileyaadi yali y'abazzukulu ba Manasse abaali basigaddewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga abaana ba Manase abawala baafuna omugabo ng’abaana be abalenzi. Ensi ya Gireyaadi yaweebwa abaana ba Manase abaali basigaddewo ne bagitwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga abaana ba Manase abawala nabo baaweebwa obutaka awamu n'abaana be ab'obulenzi. Ensi ey'e Gireyaadi n'eweebwa aba Manase abalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ne bazzukulu be abawala nabo baaweebwa ettaka. Ensi ey'e Gileyaadi yali yaweebwa dda bazzukulu ba Manasse abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga abaana ba Manase abawala baalya obusika mu baana be ab'obulenzi: n'ensi ya Gireyaadi abaana abalala aba Manase ne bagirya.