Joshua 17:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensalo za Manasse nga ziva Aseeri ne ziraga e Mikumetati ebuvanjuba wa Sekemu, ne ziserengeta mu bantu ababeeranga e Eni-Tappuwa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ensalo ya Manase yava ku Aseri n’etuuka ku Mikumesasi ebuvanjuba bwa Sekemu, n’eyita ku bukiikaddyo n’ekka n’etwaliramu abantu abaali mu Entappua.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obutaka bwa Manase bwava ku Aseri okutuuka ku Mikumesasi ebuvanjuba bwa Sekemu. Okuva awo ensalo neyeyongerayo mu bukiikaddyo n'etwaliramu n'abantu be Entappua.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu kya Manasse kyava ku Aseri okutuuka ku Mikumetati ebuvanjuba bwa Sekemu. Ensalo n'egenda mu bukiikaddyo, okuzingiramu abantu b'e Entappuwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensalo ya Manase yava mu Aseri n'etuuka ku Mikumesasi, Sekemu gye kiraba; ensalo n'eyita ku mukono ogwa ddyo, n'etuuka ku abo abaali mu Entappua.