Joshua 17:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi ya Tappuwa yali ya Manasse, naye ekibuga Tappuwa ku nsalo kyali ky'abazzukulu ba Efurayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi ya Tappua Manase n’agitwala wabula Tappua ekibuga ekyali ku nsalo ya Manase abaana ba Efulayimu be baakigabana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibuga Tappua ekyali ku nsalo ya Manase ne Efulayimu kyali kya Efulayimu, naye nga ebitundu ebikyetoolodde byali bya Manase.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu ekyetoolodde Tappuwa kyaba kya Manasse, naye ekibuga Tappuwa ku nsalo, ne kiba kya Efurayimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi ya Tappua Manase n'agirya: naye Tappua (ekyali) mu nsalo ya Manase abaana ba Efulayimu ne bakirya.