Joshua 17:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensalo ne ziserengeta ku Kiwonvu Kana. Waalingayo ebibuga bya Efurayimu mu bibuga bya Manasse, naye ensalo za Manasse nga lwe lubalama lw'omugga olw'emambuka ne zikoma ku nnyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensalo n’ekka n’etuuka ku kagga Kana ku luuyi mu bukiikakkono obw’omugga. Bino bye bibuga bya Efulayimu ebiri mu bibuga bya Manase, naye ensalo ya Manase yali mu bukiikakkono obwa kagga n’ekoma ku nnyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ensalo neyeyongerayo ng'ekka okutuuka ku mugga Kana. Ebibuga eby'omubukiikakkono obw'omugga, byali bya Efulayimu n'ewankubadde nga byali mu kitundu kya Manase. Ensalo ya Manase neyita ku ludda olwa kkono olw'omugga, n'ekoma ku nnyanja eyawakati;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ensalo n'ekka okutuuka ku Mugga Kaana. Ebibuga eby'omu bukiikakkono obw'omugga, byali bya Efurayimu, newaakubadde nga byali mu kitundu kya Manasse. Ensalo ya Manasse yayita ku ludda olwa kkono olw'omugga, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensalo n'ekka n'etuuka ku mugga Kana, ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'omugga: ebibuga ebyo Efulayimu n'abirya mu bibuga bya Manase: n'ensalo ya Manase yali ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'omugga, n'enkomerero zaayo zaali ku nnyanja: