Joshua 18:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli bonna ne bakuŋŋaanira e Silo, ne bassaayo Weema ey'Ensisinkano; ensi yonna baali bamaze okugiwangula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakuŋŋaanira mu Siiro ne basimba eyo Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Ensi yali mu mikono gyabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bwe bamala okuwangula ensi ne bakuŋŋaanira e Siiro, ne basimba eyo eweema ya Mukama ey'okusisinkanirangamu. Ensi yonna n'eba mu mikono gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bwe baamala okuwangula ensi ye Kanaani, ekibiina kyabwe kyonna ne kikuŋŋaanira e Siilo, ne basimba Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaanira mu Siiro, ne basimba eyo eweema ey'okusisinkanirangamu: ensi n'ejeemulukuka mu maaso gaabwe.