Joshua 18:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'abakubira akalulu mu maaso g'Omukama e Silo, ensi n'agigabanyizaamu Abayisirayeli ng'agoberera ebika byabwe n'ekitundu kya buli omu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yoswa n’abakubira obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama n’agabanyiza abaana ba Isirayiri ensi ng’ebitundu byabwe bwe byali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'abakubira obululu mu maaso ga Mukama e Siiro. Buli kika eky'abaana ba Isiraeri ekyali kitanagabana n'akiwa obutaka bwakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'abakubira obululu mu maaso ga Mukama e Siilo. Buli kika kya Yisirayeli ekyali kitannagabana, n'akiwa omugabo ogwakyo ogw'ettaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'abakubira obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama: Yoswa n'abagabira eyo ensi abaana ba Isiraeri ng'emigabo gyabwe bwe gyali.