Joshua 18:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akalulu akaasooka kaayokya ab'ekika ky'abazzukulu ba Benyamiini mu masiga gaabwe. Ekitundu eky'omugabo gwabwe kyali wakati w'abazzukulu ba Yuda ne bazzukulu ba Yozefu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo akalulu k’ekika kya Benyamini, okusinziira ku nnyumba mwe bazaalibwa, ne katuuka era omugabo gwe baafuna ne guba mu makkati g’abaana ba Yuda n’abaana ba Yusufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akalulu bwe kakubibwa ekika kya Benyamini kye kyasooka okulondebwamu, n'ekiweebwa obutaka mu makati w'ekika kya Yuda ne Yusufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu ekyaweebwa ennyumba z'ab'omu Kika kya Benyamiini, kye kyasooka okulondebwa mu kalulu. Ekitundu kyabwe ne kiba wakati w'Ekika kya Yuda n'Ekika kya Yosefu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akalulu ak'ekika eky'abaana ba Benyamini ne kajja ng'enda zaabwe bwe zaali; n'ensalo ey'akalulu kaabwe ne kasookera wakati mu baana ba Yuda n'abaana ba Yusufu.