Joshua 18:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ziva eyo ne zisala okudda ku kaserengeto k'e Luzi, oba Beteli, ne zikkirira e Ataroti-Addari ku lusozi oluli mu maserengeta ga Beti-Koroni ekya wansi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensalo n’esala okuva mu bukiikaddyo n’etuuka e Luzi ye Beseri ne yeeyongera mu bukiikaddyo e Atalosuaddali kumpi n’olusozi oluli wammanga mu bukiikaddyo obwa Besukolooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva eyo n'eyita ku bukiikaddyo okwolekera Luzi, ku kikono kya Luzi, ye Beseri, n'ekka okutuuka ku Atalosuaddali kumpi n'olusozi oluli ku bukiikaddyo bwa Besukolooni eky'emmanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva awo ensalo n'egenda mu bukiikaddyo, n'eyita kumpi ne Luuzi, era ekiyitibwa Beteli, n'ekka okutuuka ku Atarooti Addari, kumpi n'olusozi oluli mu bukiikaddyo obwa Betooroni, ekiri emmanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensalo n'eva eyo n'eyita n'etuuka ku Luzi, ku muyegooyego ogw'e Luzi (ye Beseri), ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo; ensalo n'ekka ku Atalosuaddali kumpi n'olusozi oluli ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'e Besukolooni eky'emmanga.