Joshua 18:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva ku kasozi akali mu maserengeta ga Beti-Koroni ekya wansi, ensalo ziweta ne ziserengeta ebugwanjuba ne ziggukira e Kiriyati-Baali, oba Kiriyati-Yewarimu, ekibuga ky'abazzukulu ba Yuda. Olwo lwe ludda olw'ebugwanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensalo ne yeeyongerayo okuva ku lusozi olutunuulidde Besukolooni n’eraga ku bukiikaddyo n’edda ebuvanjuba n’etuuka e Kiriasubaali, ye Kiriyasuyalimu, kye kibuga ky’abaana ba Yuda. Olwo lwe luuyi olw’ebugwanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensalo n'ekyukira ku ludda olulala, neva ku bukiikaddyo nedda ku bugwanjuba bw'olusozi Besukolooni, neyeyongerayo ku Kiriasubaali ye Kiriyasuyalimu, ekibuga eky'abaana ba Yuda ku luuyi olw'ebugwanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensalo n'ekyukira ku ludda olulala, n'eva mu bukiikaddyo, n'edda ebugwanjuba bw'olusozi Betooroni, n'eraga ku Kiriyati Baali oba Kiriyati Yeyariimu, ekibuga eky'ab'Ekika kya Yuda. Eyo ye yali ensalo y'Ababenyamiini mu bugwanjuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensalo n'ereetebwa ne yeetooloola ku luuyi olw'ebugwanjuba (n'egenda) obukiika obwa ddyo ng'eva ku lusozi Besukolooni gye kiraba obukiika obwa ddyo; n'enkomerero zaayo zaali ku Kiriasubaali (ye Kiriyasuyalimu), ekibuga eky'abaana ba Yuda olwo luuyi olw'ebugwanjuba.