Joshua 18:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka waali wasigadde ebika musanvu eby'Abayisirayeli ebyali bitannafuna busika bwabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
wabula waali wakyaliwo ebika musanvu ebya Isirayiri ebyali tebinnafuna mugabo gwabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waali wakyasigaddeyo ebika musanvu mu baana ba Isiraeri, ebyali bitanafuna butaka bwabyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Bayisirayeli waali wakyasigaddewo ebika musanvu ebitannafuna mugabo gwabyo ogw'ettaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era waasigalawo mu baana ba Isiraeri ebika musanvu, ebitannagabana busika bwabyo.