Joshua 18:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu buvanjuba, Yorudani ye nsalo. Ezo ze nsalo z'ekitundu ky'abazzukulu ba Benyamiini ku njuyi zonna, obusika bwabwe mu masiga gabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoludaani ye yali ensalo ku luuyi olw’ebuvanjuba. Guno gwe gwali omugabo gw’ekika kya Benyamini ng’enju bwe zaali, ng’ensalo bwe zaali era ng’enju zaabwe bwe zaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ate omugga Yoludaani gwe gwali ensalo ku luuyi olw'ebuvanjuba. Obwo bwe bwali obutaka bw'ekika kya Benyamini nga enda zaabwe bwe zaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omugga Yorudaani gwe gwali ensalo ey'ebuvanjuba ey'ekitundu ekyagabanibwa ab'ennyumba ez'ab'omu Kika kya Benyamiini, okuba ekyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Yoludaani gwali nsalo yaayo ku luuyi olw'ebuvanjuba. Obwo bwe bwali obusika obw'abaana ba Benyamini, mu nsalo zaabwo ezeetoolodde ng'enda zaabwe bwe zaali.