Joshua 18:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yoswa n'agamba Abayisirayeli nti: “Munaalinda kutuusa wa okutandika okwezza ensi Omukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yoswa n’agamba abaana ba Isirayiri nti, “Mulituusa ddi okulinda nga temunnafuna mugabo Mukama Katonda wa bajjajjammwe gwe yabawa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa n'abuuza abaana ba Isiraeri nti, “Mulituusa wa okugayaala ne mutagenda kugabana nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yoswa n'agamba Abayisirayeli nti: “Muligayaala kutuusa ddi, ne mutagenda kwefunira nsi Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa mmwe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa n'agamba abaana ba Isiraeri nti Mulituusa wa okugayaala okuyingira okulya ensi, Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa?