Joshua 18:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulonde abasajja basatu basatu mu buli kika, mbasindike, bagende batalaage ensi, bawandiike ebifa ku nsi okusinziira ku busika nga bwe bunaagenda, oluvannyuma badde gye ndi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulonde abantu basatu mu buli kika mbatume bayite mu nsi bagyetegereze, ng’emigabo gyabwe bwe giri era bawandiike ng’emigabo gyabwe bwe giri bakomewo bantegeeze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale no mwerondemu abasajja basatu, okuva mu buli kika, mbatume bagende beetegereze ensi, bawandiike bweyinza okugabanyizibwamu, balyoke bakomewo gye ndi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwerondemu abasajja basatu mu buli kika, mbatume bagende balambule ensi eyo yonna, bapime nga bw'eyinza okugabanyizibwamu, balyoke bakomewo gye ndi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwerondere abantu basatu buli kika: nange ndibatuma, nabo baligolokoka ne batambula mu nsi yonna, ne bagiwandiika bw'efaanana ng'obusika bwabwe bwe buli ne balyoka bajja gye ndi.