Joshua 18:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'ensi mumaze okugisalamu ebitundu musanvu, muwandiike ebibifaako, mubindetere wano; olwo mbakubire akalulu mu maaso g'Omukama Katonda waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga mumaze okugabanya ensi mu bitundu musanvu mundeetere bye muwandiise mbakubire obululu mu maaso ga Mukama Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwandiike ebinnyonnyola ku bitundu ebyo omusanvu, mundeetere bye muwandiise, ndyoke mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama, Katonda waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwandiike ebinnyonnyola ku bitundu ebyo omusanvu, mundeetere bye muwandiise, ndyoke mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama, Katonda waffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era muliwandiika ensi mu bitundu musanvu, ne muleeta gye ndi (bye muwandiise): nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama Katonda waffe.