Joshua 18:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo abaleevi tebalina mugabo mu mmwe, kubanga emirimu gy'obwakabona bw'Omukama bwe busika bwabwe. Ye Gaadi ne Rubeni n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse baafuna dda obusika bwabwe emitala wa Yorudani ebuvanjuba, Musa omuweereza w'Omukama bwe yabawa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaleevi tebalina mugabo mu mmwe kubanga obwakabona bwa Mukama gwe mugabo gwabwe, ne Gaadi, ne Lewubeeni n’ekitundu eky’ekika kya Manase bo baamala okuweebwa omugabo gwabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba, Musa omuweereza wa Mukama gwe yabawa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abaleevi tebajja kufuna mugabo gwa ttaka mu mmwe, kubanga omugabo ogwabwe, kwe kuweereza Mukama mu bwakabona. Ate Gaadi ne Lewubeeni n'ekitundu eky'Ekika kya Manase, Musa omuweereza wa Mukama yamala dda okubawa obutaka bwabwe ebuvanjuba bwa Yoludaani.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Abaleevi tebajja kufuna mugabo gwa ttaka mu mmwe, kubanga omugabo ogwabwe, kwe kuweereza Mukama mu bwakabona. Ate Gaadi ne Rewubeeni n'ekitundu eky'Ekika kya Manasse baamala dda okuweebwa ebitundu ebyabwe ebuvanjuba bwa Yorudaani, Musa omuweereza wa Mukama bye yabawa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Abaleevi tebalina mugabo mu mmwe; kubanga obwakabona bwa Mukama bwe busika bwabwe: ne Gaadi ne Lewubeeni n'ekitundu eky'ekika kya Manase baamala okuweebwa obusika bwabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa.