Joshua 18:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja bwe baali bagenda okutalaaga ensi, Yoswa n'alagira abaali bagenda okugiyiga nti: “Mugende muyiteeyite mu nsi, mugiyige, muwandiike bye mulabye, mudde gye ndi wano; nzija kubakubira akalulu mu maaso g'Omukama e Silo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ne bagenda okulaba ensi bw’efaanana, Yoswa n’alagira be baali batumye nti, “Mugende mutambuletambule mu nsi mugyetegereze bw’efaanana, mukomewo mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama e Siiro.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne basituka ne bagenda; Yoswa n'alagira abo abaagenda okuwandiika ensi, ng'ayogera nti, “Mugende mutambule mu nsi yonna, mugiwandiike, mukomewo gye ndi, nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama mu Siiro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abasajja ne basituka ne bagenda, okupima ensi eyo, nga Yoswa amaze okubalagira nti: “Mugende mulambule ensi eyo yonna, muwandiike ebinnyonnyola nga bw'efaanana, mukomewo gye ndi, ndyoke mbakubire obululu wano mu maaso ga Mukama e Siilo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne bagolokoka ne bagenda: Yoswa n'alagira abo abaagenda okuwandiika ensi, ng'ayogera nti Mugende mutambule mu nsi yonna, mugiwandiike, mukomewo gye ndi, nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama mu Siiro: