Joshua 18:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ne bagenda, ne batalaaga ensi, kibuga ku kibuga, mu bitundu musanvu, ne bawandiika ebifa ku nsi mu kitabo, ne bakomawo ewa Yoswa mu lusiisira e Silo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne bagenda ne bayita mu nsi, ne bawandiika ebitundu musanvu ebifa ku bibuga mu kitabo, ne bakomawo ewa Yoswa mu lusiisira e Siiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasajja ne bagenda ne bayitaayita mu nsi eyo, ne bawandiika mu kitabo nga bwe bagigabanyizzaamu ebitundu omusanvu, nga balaga n'ebibuga byabyo. Awo ne baddayo eri Yoswa mu lusiisira e Siiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja ne bagenda ne bayitaayita mu nsi eyo, ne bawandiika mu kitabo nga bwe bagigabanyizzaamu ebitundu omusanvu, nga balaga n'ebibuga byabyo. Awo ne baddayo eri Yoswa mu lusiisira e Siilo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne bagenda ne bayita mu nsi, ne bagiwandiika buli kibuga mu bitundu musanvu mu kitabo, ne bajja eri Yoswa mu lusiisira mu Siiro.