Joshua 19:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akalulu akookubiri kaayokya ab'ekika ky'abazzukulu ba Simewoni mu masiga gaabwe; obusika bwabwe bwagwa mu makkati g'ekitundu ky'abazzukulu ba Yuda;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akalulu akookubiri kaagwa ku Simyoni, kye kika ky’abaana ba Simyoni ng’ennyumba zaabwe bwe zaali n’omugabo gwabwe bwe gwali mu makkati g’omugabo gw’ekika kya Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akalulu ak'okubiri bwekaakubibwa ekika kya Simyoni ne kirondebwa, ne kiweebwa ekitundu kyakyo ekyali wakati wekyo ab'ekika kya Yuda kye bafuna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akalulu akookubiri kaagabira ba nnyumba z'ab'omu Kika kya Simyoni ekitundu ekyabwe. Ekitundu kye baafuna kyali wakati w'ekyo ab'Ekika kya Yuda kye baafuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akalulu ak'okubiri ne kagwira Simyoni kye kika eky'abaana ba Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali: n'obusika bwabwe bwali wakati mu busika obw'abaana ba Yuda.