Joshua 19:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akalulu akookusatu kaayokya abazzukulu ba Zebuluni mu masiga gaabwe. Ensalo zaabwe nga zituukira ddala e Saridi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akakulu akookusatu ne kagwa ku kika kya Zebbulooni, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali. Era n’omugabo gwabwe ne gutuukira ddala ku Salidi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akalulu ak'okusatu bwekaakubibwa, ekika kya Zebbulooni ne kirondebwa. Ekitundu kye bafuna kyatuuka ku Salidi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akalulu akookusatu ne kagabira ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Zebbulooni ekitundu ekyabwe. Ekitundu kye baafuna kyatuuka ku Saridi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akalulu ak'okusatu ne kajja ku baana ba Zebbulooni ng'enda zaabwe bwe zaali: n'ensalo ey'obusika bwabwe yatuuka ku Salidi: