Joshua 19:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne zambuka ebugwanjuba okutuuka e Marala, ne zikwata ku Dabbeseti, ne zeyongerayo okutuuka ku kiwonvu ekiri mu maaso ga Yokunewamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensalo yaabwe n’eraga ku luuyi olw’ebugwanjuba n’etuuka e Malala, n’etuuka n’e Dabbesesi; ng’egendera ku kagga akali ku buvanjuba bwa Yokuneamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva awo ensalo yaabwe yalaga bugwanjuba okutuuka e Malala neyeyongerayo e Dabbesesi okutuukira ddala ku mugga Yokuneamu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva awo ensalo yaabwe yalaga bugwanjuba e Mareyali, n'ekoma ku Dabbeseti, ne ku mugga oguli ebuvanjuba bwa Yokuneyaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ensalo yaabwe n'erinnya ku luuyi olw'ebugwanjuba, n'etuuka ku Malala, n'etuuka ku Dabbesesi; n'etuuka ku mugga Yokuneamu we kiraba;