Joshua 19:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akalulu akookuna kaayokya abazzukulu ba Yissakari mu masiga gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akalulu akookuna ne kagwa ku Isakaali, lye zadde lya Isakaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akalulu ak'okuna bwekaakubibwa, ekika kya Isakaali n'ekirondebwa, n'ekiweebwa obutaka bwakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akalulu akookuna ne kagabira ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Yissakaari ekitundu ekyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akalulu ak'okuna ne kakwata Isakaali, be baana ba Isakaali ng'enda zaabwe bwe zaali.