Joshua 19:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensalo nga zikwata ku Tabori ne Sakazuma ne Beti-Semesi, ne zikoma ku Yorudani; bye bibuga kkumi na mukaaga n'ebyalo byabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensalo n’ekwata ku Taboli ne Sakazuma ne Besusemesi n’ekoma ku mugga Yoludaani. Ebibuga byonna awamu byali kkumi na mukaaga n’ebyalo byabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ensalo n'etuuka ku Taboli, Sakazuma ne Besusemesi; n'ekoma ku mugga Yoludaani; bye bibuga kkumi na mukaaga (16), n'ebyalo byabyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensalo era n'ekoona ku Tabori ne Sahazuma, ne Betisemesi, n'ekoma ku Yorudaani, bye bibuga kkumi na mukaaga n'ebyalo byabyo ebibyetoolodde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ensalo n'etuuka ku Taboli, ne Sakazuma, ne Besusemesi; n'enkomerero z'ensalo yaabwe zaali ku Yoludaani: ebibuga kkumi na mukaaga n'ebyalo byabyo.