Joshua 19:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne zidda e Rama, ne zigenda ku kibuga ekya bbugwe ekya Tiiro, ne zidda e Kosa, ne ziggukira ku nnyanja mu kitundu ky'e Akuzibu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensalo n’edda ku Laama n’ekibuga ekiriko ekigo ekya Tuulo ne kyeyongerayo e Kosa n’eryoka ekoma ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ensalo neweta okudda Laama netuuka ku kibuga Ttuulo ekiriko ekigo; neweta nedda e Kosa okutuuka ku nnyanja eyawakati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensalo n'eweta okwolekera Raama, n'etuuka ku kibuga Tiiro ekiriko ekigo, n'eweta okwolekera Osa, n'ekoma ku Nnyanja Eyaawakati. Yazingiramu Makalabu ne Akuzibu
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ensalo n'ekyamira ku Laama, ne ku kibuga ekiriko ekigo Tuulo; ensalo n'ekyamira ku Kosa; n'enkomerero zaayo zaali ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu: