Joshua 19:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwo bwe busika bw'abazzukulu ba Aseeri mu masiga gaabwe, omwali ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Aseri ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obwo bwe butaka obwaweebwa ekika kya Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byabyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibuga bino n'ebyalo byabyo byali mu kitundu ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Aseri kye baafuna okuba ekyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.