Joshua 19:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akalulu akoomukaga kaayokya abazzukulu ba Nafutali, ku lw'abazzukulu ba Nafutali, mu masiga gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akalulu akoomukaaga ne kagwa ku Nafutaali, be baana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akalulu ak'omukaaga bwekaakubibwa ekika kya Nafutaali n'ekirondebwa, n'ekiweebwa obutaka bwakyo ng'enda zaabwe bwe zaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akalulu ak'omukaaga ne kagabira ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Nafutaali ekitundu ekyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akalulu ak'omukaaga ne kagwira abaana ba Nafataali, be baana ba Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali.