Joshua 19:39 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwo bwe busika bw'ab'ekika ky'abazzukulu ba Nafutali mu masiga gaabwe, omwali ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogwo gwe gwali omugabo gw’ekika ky’abaana ba Nafutaali ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, ebibuga n’ebyalo byabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obwo bwe butaka bwe kika kya Nafutaali ne bibuga ne byalo byabyo ng'enda zaabwe bwe zaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo byali mu kitundu, ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Nafutaali kye baafuna okuba ekyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byabyo.