Joshua 19:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Daani beesanga ng'ekitundu kyabwe tekibamala, kwe kwambuka ne balumba Lesemu, ne bakikwata, ne bakikuba n'ekitala, ne bakyezza. Baakisengamu, ne bakiyita Lesemu-Daani, nga basinziira ku jjajjaabwe Daani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abaana ba Ddaani baalina obuzibu okutwala omugabo gwabwe ne bagenda ne balumba Lesemu ne bakiwangula ne batta abantu baamu n’ekitala ne babeera omwo, ne bakituuma Ddaani ly’erinnya lya jjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ab'omu kika kya ddaani bwe baafiirwa ekitundu kyabwe, ne bagenda e Lesemu, ne bakirumba ne bakirwanyisa, ne bakiwamba, ne batta abantu baamu bonna, ne bakituuma erinnya Ddaani, erya jjajjaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'omu Kika kya Daani bwe baafiirwa ekitundu kyabwe, ne bagenda e Layisi, ne bakirumba ne bakirwanyisa, ne bakiwamba, ne batta abantu baamu bonna, ne bakituuma erinnya Daani, erya jjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensalo ey'abaana ba Ddaani n'ebuna ensi etali yaabwe: kubanga abaana ba Ddaani baalinnya ne balwanyisa Lesemu, ne bakimenya, ne bakitta n'ekitala ne bakirya, ne bakibeeramu, ne bakituuma Lesemu Ddaani, lye linnya lya Ddaani jjajjaabwe.