Joshua 19:48 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obwo bwe busika bw'ekika ky'abazzukulu ba Daani mu masiga gaabwe, omwali ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogwo gwe mugabo gw’abaana ba Ddaani ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obwo bwe butaka obw'ekika kya Ddaani, ebibuga ne byalo byabyo ng'enda zaabwe bwe zaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibuga bino n'ebyalo byabyo byali mu kitundu ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Daani kye baafuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Ddaani ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.