Joshua 19:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli bwe baamala okugabanyaamu ensi mu bitundutundu ku kalulu, ne bawa Yoswa mutabani wa Nuunu obusika mu bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga bamaze okugabana ensi mu bitundu eby’enjawulo abaana ba Isirayiri ne bawa Yoswa mutabani wa Nuuni omugabo mu bo
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri bwe bamala okugabanyamu ensi ebitundu, buli kika ne kifuna ekitundu kyakyo, awo ne balyoka bawa Yoswa mutabani wa Nuuni ekitundu ekikye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bwe baamala okugabanyaamu ensi ebitundu, buli bamu ne bafuna ebyabwe, awo ne balyoka bawa Yoswa mutabani wa Nuuni ekitundu okuba ekikye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe batyo bwe baamalira ddala okugaba ensi okuba obusika mu nsalo zaayo; n'abaana ba Isiraeri ne bawa Yoswa omwana wa Nuni obusika wakati waabwe: