Joshua 19:50 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga Omukama bwe yali alagidde, baamuwa ekibuga kye yali asabye, Timunati-Sera, mu nsozi za Efurayimu. Yakizimba, n'abeera omwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali, ne bamuwa ekibuga kye yasaba, Timunasusera mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu. Omwo mwe yazimba ekibuga mwe yabeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga Mukama bwe yalagira ne bamuwa ekibuga Timunasusera kyeyasaba ekiri mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu; naakizimba n'abeera omwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga Mukama bwe yalagira, ne bamuwa ekibuga kye yasaba, eky'e Timunati Seera, mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi. N'akizimba buggya, n'abeera omwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga Mukama bwe yalagira ne bamuwa ekibuga kye yasaba, ye Timunasusera mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'azimba ekibuga n'abeera omwo.