Joshua 19:51 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo bye bitundu Eleyazari kabona, Yoswa mutabani wa Nuunu, n'abakulu b'ebika by'Abayisirayeli bye baagereka ku kalulu nga bali e Silo mu maaso g'Omukama, ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, ne bamaliriza batyo okugabanyaamu ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino bye bitundu Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n’abakulu b’ebika bya Isirayiri bye bagabana okuyita mu kalulu e Siiro nga beebuuza ku Mukama mu mulyango gwa Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamaliriza okugabanyaamu ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obwo bwe butaka Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n'abakulu b'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe baagaba nga bakuba obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama mu mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu. Bwe batyo bwe baamalira ddala okugabanya ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eleyazaari kabona, ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n'abakulu b'ennyumba z'ab'omu bika bya Yisirayeli, baagabanya ebitundu bino eby'ensi, nga bakuba obululu mu maaso ga Mukama e Siilo, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama. Bwe batyo bwe baamaliriza okugabanyaamu ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obwo bwe busika, Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuni n'emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe baagabanira n'obululu okuba obusika mu Siiro mu maaso ga Mukama mu mulyango ogw'eweema gye baakuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamalira ddala okugabana ensi.