Joshua 19:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga bino okutuukira ddala ku Baalati-Beeri, oba Rama mu Negevu. Obwo bwe bwali obusika bw'ab'ekika ky'abazzukulu ba Simewoni mu masiga gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, ye Laama ekiri mu bukiikaddyo. Ebyo bye bitundu abaana ba Simyoni bye baagabana ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga ebyo n'ebyalo ebibyetoolodde okutuukira ddala ku Baalasubeeri ye Laama, obukiikaddyo; bwe butaka obwaweebwa ekika kya Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
wamu n'ebyalo byonna ebibyetoolodde okutuuka ku Baalati Beera oba Raama, mu bukiikaddyo. Kino kye kitundu ab'ennyumba z'ab'omu Kika kya Simyoni kye baafuna okuba ekyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, Laama eky'obukiika obwa ddyo. Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali: