Joshua 19:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusika bw'abazzukulu ba Simewoni bwaggyibwa ku kitundu ky'abazzukulu ba Yuda, kubanga ekyabwe kyali kinene okusinga kye beetaaga. Awo nno obusika bw'abazzukulu ba Simewoni kwe kubeera mu makkati g'obusika bw'abazzukulu ba Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ettaka abaana ba Simyoni lye baagabana lyali wamu n’ery’abaana ba Yuda. Kubanga omugabo gw’abaana ba Yuda gwabasukkirira obunene; abaana ba Simyoni kyebaava bagabana wakati mu bitundu by’omugabo gwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obutaka obw'ekika kya Simyoni; bwali wamu n'obw'ekika kya Yuda, olw'okuba omugabo ogw'abaana ba Yuda gw'abayitirirako obunene, ab'ekika kya Simyoni kyebaava bafuna obutaka wakati mu butaka bw'ekika kya Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu ekyaweebwa ab'omu Kika kya Yuda nga bwe kyali kibayitiriddeko obunene, n'ab'omu kika kya Simyoni kwe baafuna omugabo ogwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu kitundu eky'abaana ba Yuda mwe mwava obusika obw'abaana ba Simyoni: kubanga omugabo ogw'abaana ba Yuda gwabalema okubuna: abaana ba Simyoni kyebaava balya obusika wakati mu busika bwabwe: