Joshua 2:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yoswa mutabani wa Nuunu n'asindika abakessi babiri mu kyama nga bava e Sittimu, n'abagamba nti: “Mugende mukette ensi, n'ekibuga Yeriko.” Ne bagenda, ne bayingira mu nnyumba ya malaaya ayitibwa Rakabu; ne basula omwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yoswa mutabani wa Nuuni n’atuma abasajja babiri okuva e Sittimu bagende mu kyama bakette, n’abagamba nti, “Mugende mwekkaanye ensi eyo na ddala ekibuga Yeriko.” Bwe batyo ne bagenda. Bwe baatuukayo ne bayingira mu nnyumba y’omukazi malaaya ayitibwa Lakabu ne basula omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yoswa omwana wa Nuuni n'atuma abantu babiri mu nkiso okuva mu Sittimu, ng'ayogera nti, “Mugende, mukette ensi naddala Yeriko.” Ne bagenda, ne bayingira mu nnyumba ey'omwenzi, erinnya lye Lakabu, ne basulayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yoswa mutabani wa Nuuni n'atuma abakessi babiri okuva mu Sittimu, n'abagamba nti: “Mugende mwetegereze ensi y'e Kanaani, naddala Ekibuga Yeriko.” Ne bagenda. Bwe baatuuka mu kibuga, ne bayingira mu nnyumba ya malaaya, erinnya lye Rahabu, ne basulayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yoswa omwana wa Nuni n'atuma abantu babiri nkiso okuva mu Sittimu okuketta, ng'ayogera nti Mugende, mukebere ensi ne Yeriko. Ne bagenda, ne bayingira mu nnyumba ey'omwenzi, erinnya lye Lakabu, ne basulayo.