Joshua 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twawulira ng'Omukama bwe yakaliza Ennyanja ey'Ebiwuuwa ku lwammwe lwe mwava e Misiri, ne bye mwakola bakabaka ababiri Abaamori, emitala wa Yorudani, Sikoni ne Ogi be mwazikiriza obutalekaawo kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Twawulira Mukama bwe yakaliza ennyanja emyufu nga muva e Misiri era twawulira bwe mwazikiriza Sikoni ne Ogi bakabaka b’Abamoli emitala w’omugga Yoludaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga twawulira Mukama bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu mu maaso gammwe, bwe mwava mu Misiri; era kye mwakola bakabaka ababiri ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni ne Ogi, be mwazikiririza ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga twawulira Mukama nga bwe yakaliza mu maaso gammwe Ennyanja Emmyufu bwe mwava mu Misiri. Era twawulira kye mwakola bakabaka ababiri ab'Abaamori, Sihoni ne Ogi, abaali emitala wa Yorudaani, be mwazikiririza ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga twawulira Mukama bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu mu maaso gammwe, bwe mwava mu Misiri; era kye mwakola bakabaka ababiri ab'Abamoli abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni ne Ogi; be mwazikiririza ddala.