Joshua 2:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe twawulira kino, n'emitima gyaffe ne gitutekemuka, buli omu n'aggwaamu amaanyi olw'okubeera mmwe, kubanga Omukama Katonda wammwe ye Katonda mu ggulu waggulu ne mu nsi wansi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago nga twakakiwulira emitima gyatutyemuka, era teri n’omu ku ffe yasigalamu ndasi, kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda w’omu ggulu ne mu nsi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naffe bwe twakiwulira, emitima gyaffe ne giryoka gitekemuka, so tewali muntu asigalamu omwoyo gwonna, ku lwammwe; kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo ye Katonda waggulu mu ggulu, era wansi ku nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe twakiwulira, ne tutya, era ffenna mwatumalamu dda amaanyi, kubanga Mukama Katonda wammwe, ye Katonda ali waggulu mu ggulu, ne wansi ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naffe bwe twakiwulira emitima gyaffe ne giryoka gisaanuuka; so tewali muntu asigalamu omwoyo gwonna ku lwammwe: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo ye Katonda waggulu mu ggulu, era wansi ku nsi.