Joshua 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno mundayirire mu linnya ly'Omukama nti nga nze bwe mbagiridde ekisa, nammwe bwe munaagirira ekisa ennyumba ya kitange; mumpe n'akabonero okukakasa
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Nga nange bwe mbakoledde ebyekisa, mbasaba nammwe munkolere bwe mutyo nga mulayira mu linnya lya Mukama era mumpe n’obukakafu
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano, mbeegayiridde, mundayirire Mukama, kubanga mbakoze bulungi, nammwe okugikola obulungi ennyumba ya kitange, era mumpe akabonero akankakasa ekyo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano mundayirire Mukama oyo, ng'amaka ga kitange munaagakwatirwa ekisa nga nange bwe nkibakwatiddwa mmwe, era mumpe akabonero akanankakasa obwesigwa bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale kaakati, mbeegayiridde, mundayirire Mukama, kubanga mbakoze bulungi nammwe okugikola obulungi ennyumba ya kitange, era mumpe akabonero ak'amazima: