Joshua 2:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ne bamuddamu nti: “Tusinzeewo obulamu bwaffe ku lulwo. Kasita tooyogere kye tukola, nga Omukama atuwadde ensi eno, tulikugirira ekisa era tulikuyisa na bwesigwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja abo ne baddamu nti, “Bw’otolituloopa, naffe tulibawonya Mukama ng’atuwadde ensi eno; era Mukama atuzikirize bwe tutalikola bwe tutyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne bamugamba nti, “Obulamu bwaffe buligatta obulamu bwammwe! bwe mutalibuulira bigambo byaffe bino, awo Mukama bw'alituwa ensi, ne tulyoka tukukolera ekisa n'amazima.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja ne bagamba nti: “Tulikuuma obulamu bwammwe nammwe bwe munaakuuma obwaffe. Bwe mutaayogere bino bye tubadde tukola, Mukama bw'alituwa ensi eno, naffe tulikulaga ekisa n'amazima.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne bamugamba nti Obulamu bwaffe buligatta obulamu bwammwe, bwe mutalibuulira bigambo byaffe bino awo Mukama bw'alituwa ensi, ne tulyoka tukukolera ekisa n'amazima.