Joshua 2:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Rakabu n'abakkiriza wansi n'omuguwa ng'abayisa mu ddirisa, kubanga ennyumba ye mwe yali asula yali yeeyunze ku bbugwe w'ekibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okubanga ennyumba ya Lakabu yazimbwa ku bbugwe w’ekibuga, bw’atyo n’abasizza ku muguwa ng’abayisa mu ddirisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'abassa n'omugwa ng'abayisa mu ddirisa; kubanga ennyumba ye yali ekwataganye ku bbugwe ow'ekibuga, naye yabeeranga ku bbugwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rahabu yasulanga ku bbugwe wa kibuga, kubanga ennyumba ye kwe yazimbirwa. N'akozesa omuguwa n'abayamba okukka ng'abayisa mu ddirisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'abassa n'omugwa ng'abayisa mu ddirisa; kubanga ennyumba ye yali ekwatanye ku bbugwe ow'ekibuga, naye yabeera ku bbugwe.