Joshua 2:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Mukwate kkubo lya mu nsozi, ababawondera baleme kubasisinkana. Mwekweke eyo ennaku ssatu, okutuusa ababawondera lwe banadda, olwo mulyoke mugende.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yabagamba nti, “Mugende mwekwekere ennaku ssatu eyo mu nsozi okutuusa ng’ababawenja bamaze okudda, oluvannyuma muyinza okwetambulira amakubo gammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Mugende ku lusozi, ababagoberedde baleme okubasanga; era mwekwekereyo ennaku ssatu, okutuusa ababagoberedde lwe balikomawo; oluvannyuma muliyinza okugenda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Mulage mu nsozi, ababawondera baleme kubasanga. Mwekwekereyo ennaku ssatu, okutuusa lwe banaakomawo. Oluvannyuma muliyinza okugenda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Mugende ku lusozi, abaabagoberedde baleme okubasanga: era mwekwekereyo ennaku ssatu, okutuusa abaabagoberedde lwe balikomawo; oluvannyuma muliyinza okugenda.