Joshua 2:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula, nga lwe tuliyingira ensi, omuguwa guno omutwakaavu oliba ogusibye mu ddirisa mw'otuyisizza okutuserengesa; era nga ne kitaawo, nnyoko, bannyoko n'ab'oluganda lwo bonna nabo ng'obakuŋŋaanyirizza mu nnyumba yo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era bwe tulitabaala ensi yammwe, osibanga omuguwa guno omumyufu mu ddirisa mwe watuyisa era okuŋŋaanyizanga mu nnyumba yo, kitaawo, ne nnyoko, bannyoko n’ab’omu nnyumba ya kitaawo bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, bwe tulijja mu nsi, olisiba akagwa kano akamyufu mu ddirisa ly'otuyisizzaamu; era olikuŋŋaanyiza mu nnyumba gy'oli kitaawo ne nnyoko ne baganda bo, n'ennyumba yonna eya kitaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olikola bw'oti: bwe tulirumba ensi yammwe eno, olisiba akaguwa kano akamyufu ku ddirisa ly'otuyisizzaamu. Era olikuŋŋaanyiza mu nnyumba yo, kitaawo, ne nnyoko ne baganda bo, n'ab'omu nnyumba ya kitaawo bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, bwe tulijja mu nsi, olisiba akagwa kano akamyufu mu ddirisa ly'otuyisizzaamu: era olikuŋŋaanyiza mu nnyumba gy'oli kitaawo ne nnyoko ne baganda bo, n'ennyumba yonna eya kitaawo.