Joshua 2:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aliba afulumye mu nnyumba yo n'agenda mu luguudo n'akwatibwa, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe; ffe tetugenda kunenyezebwa. Naye bwe walibaawo akwatibwako ku abo abalibeera naawe mu nyumba, omusaayi gwe gulibeera ku mitwe gyaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gwe kalitanda n’afuluma mu nju yo n’atambulatambula mu nguudo, ekirimutuukako kyonna y’alimanya. Kyokka alituukibwako akabi konna mu nju yo, ogwo guliba musango gwaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe kityo, omuntu yenna aliva mu miryango egy'ennyumba yo ku luguudo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe, naffe tetulizza musango; era omuntu yenna alibeera naawe mu nnyumba yo ku luguudo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe, naffe tetulizza musango, era omuntu yenna alibeera naawe mu nnyumba, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwaffe, bw'alikwatibwa omukono gwonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe walibaawo afuluma ennyumba yo n'adda mu luguudo, ye aliba yeereetedde yekka okuttibwa, si ffe tulivunaanibwa. Naye buli alibeera naawe mu nnyumba, n'atuukibwako akabi, oyo gwe tulivunaanibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe kityo, omuntu yenna aliva mu miryango egy'ennyumba yo ku luguudo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe, naffe tetulizza musango: era omuntu yenna alibeera naawe mu nnyumba, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwaffe, bw'alikwatibwa omukono gwonna: