Joshua 2:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka bw'onooyogera kye tukola, tunaaba tetukyasibwa ndagaano gy'otulayizza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye k’olituloopa, olwo oliba omenye endagaano yaffe naawe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'olibuulira ebigambo byaffe bino, tetulizza musango olw'ekirayiro kyo ky'otulayizizza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula bw'olibuulirako omuntu yenna ku bino bye tukola, tuliba tetukyasibibwa kirayiro kyo kino ky'otulayizza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'olibuulira ebigambo byaffe bino tetulizza musango olw'ekirayiro kyo ky'otulayizizza.