Joshua 2:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye n'addamu nti: “Kale kibeere nga bwe mugambye.” N'abasiibula, ne bagenda; n'asiba omuguwa omutwakaavu mu ddirisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lakabu y’abaddamu n’abagamba nti, “Byonna bibeere nga bwe tukkaanyizza.” Bwe yamala okubasiibula n’asiba akawero akamyufu mu ddirisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Ng'ebigambo byammwe bwe biri, kibeere bw'ekityo.” N'abasindika, ne bagenda, n'asiba akagwa akamyufu mu ddirisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Rahabu n'akkiriza, n'abasiibula ne bagenda, n'asiba akaguwa akamyufu ku ddirisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Wabe ng'ebigambo byammwe bwe biri. N'abasindika, ne bagenda n'asiba akagwa akamyufu mu ddirisa.