Joshua 2:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne batambula, ne bagenda mu nsozi, ne babeera eyo ennaku ssatu, okutuusa abaabawondera lwe baakomawo, nga babanoonyezza wonna mu kkubo ne batabalaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakessi bwe baamala okwekwekera ennaku ssatu mu nsozi nga n’ababanoonya bababuliddwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bagenda ne batuuka ku lusozi, ne babeera eyo ennaku ssatu, okutuusa abaabagoberera lwe baamala okukomawo, kubanga, abaabagoberera baabanoonya mu kkubo lyonna, ne batabalaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakessi ne bagenda ne beekweka mu nsozi, ne babeera eyo ennaku ssatu, okutuusa abaabawondera lwe baakomawo mu Yeriko nga bamaze okubanoonya wonna ne batabalaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bagenda ne batuuka ku lusozi, ne babeera eyo ennaku ssatu, okutuusa abaabagoberera lwe baamala okukomawo abaabagoberera baabanoonya mu kkubo lyonna, ne batabalaba: