Joshua 2:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ababiri ne baddayo ne bakkirira olusozi, ne basomoka Yorudani ne bajja eri Yoswa mutabani wa Nuunu, ne bamubuulira byonna ebyabatuukako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne beddirayo eri Yoswa mutabani wa Nuuni ne bamuyitiramu mu byonna nga bwe byagenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu ababiri ne bakomawo, ne baserengeta ku lusozi, ne basomoka, ne bajja eri Yoswa omwana wa Nuuni; ne bamubuulira byonna ebyababaako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakessi bombi ne bavaayo mu nsozi ne basomoka Yorudaani, ne baddayo eri Yoswa mutabani wa Nuuni, ne bamubuulira byonna ebyabatuukako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu ababiri ne bakomawo, ne baserengeta ku lusozi, ne basomoka, ne bajja eri Yoswa omwana wa Nuni; ne bamubuulira byonna ebyababaako.