Joshua 2:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bagamba nti: “Omukama atadde ensi eyo yonna mu mikono gyaffe; abatuuze baamu bonna batekemuse olw'okubeera ffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamugamba nti, “Ddala ensi eyo Mukama agituwadde, abantu baamu bonna tubakubye encukwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamugamba Yoswa nti, “Mazima Mukama atuwadde mu mikono gyaffe ensi yonna; era nate abali mu nsi bonna batekemukira ddala mu maaso gaffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bamugamba nti: “Ddala Mukama ensi eno yonna agituwadde. Abantu bonna abagirimu batutidde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba Yoswa nti Mazima Mukama atuwadde mu mikono gyaffe ensi yonna; era nate abali mu nsi bonna basaanuukira ddala mu maaso gaffe.