Joshua 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka wa Yeriko n'atumira Rakabu, n'amugamba nti: “Fulumya abasajja abazze gy'oli ne bayingira mu nnyumba yo, kubanga bakessi, bazze kuketta nsi yonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo kabaka oyo n’atumya ewa Lakabu nti, “Mu nju yo mulimu abasajja abazze okuketta ensi yange, bampeereze mangu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka w'e Yeriko n'atumira Lakabu, ng'ayogera nti, “Goba abantu abazze gy'oli, abaayingidde mu nnyumba yo; kubanga bazze okuketta ensi yonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'atumira Rahabu nti: “Abantu abazze ne bayingira mu nnyumba yo, bazze kuketta nsi yaffe yonna. Baggyeeyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka w'e Yeriko n'atumira Lakabu, ng'ayogera nti Goba abantu abazze gy'oli, abaayingidde mu nnyumba yo: kubanga bazze okuketta ensi yonna.