Joshua 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omukazi n'addira abasajja n'abakweka; n'addamu nti: “Kituufu, abasajja bazze gye ndi; nabadde simanyi gye bavudde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Lakabu abasajja bano yali yamaze dda okubakweka, naye n’alyoka agamba nti, “Kituufu abasajja abo baabaddeko wano naye saategedde gye baabadde bava.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omukazi n'abatwala bombi, n'abakweka; n'ayogera nti, “Weewaawo, abantu bazze gye ndi, naye nnabadde simanyi gye bavudde;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka omukazi n'abatwala bombi n'abakweka, n'agamba nti: “Weewaawo abantu bazze ewange. Naye nabadde simanyi gye bavudde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi n'abatwala bombi, n'abakisa; n'ayogera nti Weewaawo, abantu bazze gye ndi, naye nabadde simanyi gye bavudde.